Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okunyweza obumu mu kaweefube w’okukuuma ebyo ebitwala Buganda mu maaso.
Ssaabasajja bwabadde ku mikolo gy’okujaguza amazaalibwa ge ag’e 68 mu lubiri lwe e Mengo, ekitala kyabulijjo asiimye n’abaako obubaka bwawadde abantu be.
Maasomooji ensonga y’obumu aginnyikizza nnyo ebeere nsonga nkulu ennyo eri abantube esaanye okussibwako essira.
Beene alagidde abantu be okwongera amaanyi mu kwekuuma nga balamu naddala okwekuuma obulwadde bwa siriimu, okwewala okufuuweeta sseggereeti n’emmindi.
#CBSFmUpdates
No comments:
Post a Comment