BUKEDDE akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga twetegekera amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013.
Omusasi wa e ROGERS KIBIRIGE alaze olutalo lw’Ebya e na lwaki bingi bikyalemeddeyo.
BAALI abasajja basatu abaasooka okusisinkana Pulezidenti Museveni ku nsonga y’okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda obwali buwereddwa gavumenti ya Obote mu Ssemateeka wa 1967.
Kuno kuliko Omutaka Nadduli Kibaale, Ndugwa Grace Ssemakula ne Guster Nsubuga.
Mu 1987, Abataka abaakulemberwamu Ndugwa Grace Ssemakula baasisinka Pulezidenti Museveni e Ntebe ne bamusaba okuzzaawo Obwakabaka.
Olw’okuba ekigambo ‘Kabaka’ kyali kyafuulibwa kya byabufuzi, baasala amagezi ne bakozesa erinnya lya Ssaabataka. Pulezidenti bwe yabuuza omulimu gwa Ssaabataka ne bamutegeeza nti y’akulira Abataka b’Ebika n’okumala emikolo gy’ebyobuwangwa gyonna mu Buganda.
Munnamateeka John Katende ye yabaga ekiwandiiko ekyasomebwa mu maaso ga Pulezidenti.
Ndugwa Ssemakula agamba nti ensonga za Ssaabataka zeeyongeramu ebbugumu, olupapula lw’amawulire olwa Ngabo bwe lwafulumya amawulire agaalaga nti Abataka baali basazeewo obutagenda mu maaso na kukolagana na Gavumenti singa ebintu bya Ssaabataka tebimuddizibwa.
Eyali Ssentebe w’Abataka mu kiseera kino, Omutaka Nadduli Kibaale agamba:
Oluvannyuma lw’akakiiko k’amagye okutuula nga July 06, 1992 Pulezidenti yawandiikira Kabaka ng’alaga nti asazeewo okukolagana n’Abataka ku bintu bya Ssaabataka kuba baali beesimbu nnyo okusinga abantu abalala be yali agezezzaako okukolagana nabo.
Nayitibwa okwetaba mu lukiiko lw’amagye olwatuula e Gulu era oluvannyuma naweebwa ekiwandiiko ekizza ebintu bya Ssaabataka okwali Bulange, Butikkiro, Olubiri, ettaka lya Nnaalinnya ne Namasole, ettaka ly’Amasiro, ennyanja ya Kabaka, enju y’omulamuzi n’ey’omukulu w’ekibuga n’ettaka erya mayiro 350 kyokka nga Buganda teyali yaakubikozesa okumala ebbanga eggere kuba byalimu magye.
Kabaka yalondawo akakiiko ka bantu abaali ku ludda lwa Buganda nga bateeseganya n’abaali ku ludda lwa Gavumenti.
Oluvannyuma lwa Kabaka okubalonda baatwalibwa ku Palamenti ne balayizibwa okukuuma ebyama era nga tebaalina kubuulirako muntu yenna wadde bakadde baabwe oba abaagalwa baabwe.
Agamba: Tekyatubeerera kyangu okuteesa n’abaamagye kuba bo bajjiranga mu yunifoomu z’amagye ate nga tebaseka!
Twateeseza omwezi mulamba kyokka ne tulemererwa kuba Gavumenti yali ekkiriza okutuddiza Olubiri kyokka ng’etutaddeko akakwakkulizo ka kutandika kulukozesa oluvannyuma lw’emyaka 20 ate Bulange yo twali baakutandika kugikozesa oluvannyuma lw’emyaka 14.
MEEYA w’e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo agamba nti ffe abaali ku ludda lwa Buganda twali twagala ebintu bino bituddire bunnambiro tusobole okuteekateeka okutuuza Ssaabataka era nga waaliwo emikolo egyali giteekeddwa okukolebwamu.
Gavumenti yaleeta bbaasi eyatutwala okulambula ebintu bya Ssaabataka, bwe twatuuka ku Bulange twasanga nsiko ate ng’ebizimbe byafaafaagana dda, abaamagye abaali mu kifo kino baasasamala era wano Dr. B Mbonye n’abaamagye abamu ne batutegeeza nga ebifo bino bwe byalimu ebintu ebyasulanga nga bikaaba!
Ndugwa Ssemakula ajjukira: Bwe twatuuka mu Bulange ne tweyala ku kituuti awabeera Nnamulondo ne tulambaala, abaamagye ne beewuunya.
Twaggyayo obutambaala ne tukaaba olw’embeera ebifo bino gye byalimu ate bwe twagenda ku kisenge awali emiziro gy’Ebika buli omu n’akwata awaali ogugwe wabula bannaffe abaali tebasobola kukwata ku gyabwe ne tubasitula.
Wano twavaawo ne tudda ku Twekobe nayo eyatukaabya amaziga olw’embeera gye yalimu.
Wadde ng’okuteesa kwali kwakuddamu enkeera, twafuna obuvumu ne tusaba okutukkiriza okuteesa ku lunaku lwe twalambula, twagenda mu Palamenti kyokka ne tutakkaanya ku kya myaka.
Essaawa y’ebyokulya n’okunywa bwe yatuuka abamu ne tuzira, abaali ku ludda lwa Gavumenti bwe baatubuuza ekyali kitutuseeko Nabbosa Ssebugwawo n’abaddamu nti mu Buganda bwe tufiirwa tetulya n’abamu ku bannaffe abaali bakutte ebyokulya ne babissa wansi!
Muky. Ssebuggwawo agamba: Nawandiika akapapula ne nkaweereza Polof. Nsibambi nga mmusaba ategeeze aba Gavumenti nti oba eky’emyaka kigaanye enteeseganya tuziveemu. Nalaba abaamagye bakiremeddeko ne nkwata fayiro yange ne nfuluma.
MUKY. Ssebuggwawo agamba nti nga bamaze okuzira enteeseganya mu Palamenti, era ne banne ne bafuluma, waayita olunaku lumu ne baddamu okuteesa, ku luno nga eyali Katikkiro Kintu Musoke y’ali ku ludda lwa Gavumenti.
Gavumenti yakkiriza okuzza ebintu bya Buganda mbagirawo enteeseganya ne ziggwa.
Omutaka Ndugwa: Mu kiseera kino kyali kyetaagisa okusooka okukyusa Ssemateeka wa 1967 eyaggyawo Obwakabaka.
Gavumenti yalonda Ssaabawolereza waayo Abu Mayanja ne Buganda n’eronda munnamateeka John Katende, bombi baatuula ne batema empenda ez’okuteekateeka amatikkira ga Ssaabataka aga 1993.
Oluvannyuma lw’Amatikkira ga Kabaka, abakungu abaalondebwa omuli Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere; Ssaabalangira Besweri Mulondo; Omutaka Ndugwa; Polof. Apolo Nsibambi (eyalondebwa okuba minisita wa Ssemateeka e Mmengo); Rev. Dan Kajumba; John Katende; A.D Lubowa; Sheik Ali Kulumba beegatta ku kakiiko ka Nsibambi akaali kateesa ku Byaffe okwongera mu maaso n’enteeseganya ne Gavumenti okuzza ebintu bya Buganda.
Ab’e Mmengo lwe baazira emmere mu nteeseganya z’Ebyaffe
MUKY. Ssebuggwawo agamba: BULI Kika ne kironda omubaka omu era ng’Ebika byavaamu ababaka 52 okukiika mu Lukiiko lwa babaka 86.
Eyali mu gavumenti ya Kabaka eyasooka, Guster Nsubuga agamba: Nze, Ssaabalangira Besweri Mulondo, omugenzi Polof. Ssenteza Kajubi, John Kawanga n’omugenzi Wasswa twasaba eyali omumyuka wa Pulezidenti eyasooka, Dr. Samson Kisekka okutwanjula ewa Pulezidenti ku nsonga za Federo.
Bwe twamusisinkana yatusaba okubaga ekiwandiiko ekirambika obukulembeze gye buva wansi okutuukira ddala waggulu nga bwe guli ku LC ye ze yagamba nti ze yali ategeera obulungi.
Mu 1994, Gavumenti bwe yatandika okubaga Ssemateeka omuggya, Kabaka yalonda Ssaabalangira Besweri Mulondo okukulemberamu ababaka ba Buganda mu lukiiko lwa C.A okusobola okuzzaawo enfuga ya Federo.
Enfuga ya Federo Gavumenti yagisimbira ekkuuli wabula eyali sipiika James Wapakhabulo n’awa Pulezidenti amagezi okusisinkana Kabaka okutaasa eggwanga obutatabuka lwa Federo.
Museveni yasisinkana Kabaka e Masaka ne bakkaanya okulondawo akakiiko akanaateesa ku nfuga ya Federo.
Mu CA, Ssaabalangira Besweri Mulondo ne babaka banne abaakiikirira Buganda baali batumiddwaayo Federo.
Kyokka Ssaabalangira yalya mu banne olukwe n’akola okusalawo okukwe n’asituka n’ategeeza nti, “
Ensonga za Federo zifuuse nga Ssemusota guli mu ntamu....! Kati abasaba Federo mulimu n’abeebibiina (UPC) okuli n’ekyaggyawo Obwakabaka noolwekyo okutuwa Federo ng’ereeteddwa bantu b’engulu aleseeyo asinga!”
Yategeeza nti Katikkiro alina kulondebwa ng’ayita mu kalulu ekintu Mmengo kye yagaana.
Enteeseganya zaasasika okutuusa Pulezidenti lwe yasisinkana Kabaka ne ziddamu. Mmengo yakiikirirwa Katikkiro Ssemwogerere, John Katende, Peter Mayiga, Apollo Makubuya ate Gavumenti n’ekiikirirwa Amama Mbabazi, Mbiire ne Khidu Makubuya.
Buganda by’ebanja
1. Enfuga ya Federo. Muno mulimu okuba n’obuyinza okwesalirawo, okukung’aanya emisolo, eddembe ly’okutambula kwa Kabaka.
2. Mayiro z’ettaka 9,000, ettaka ly’enjazi, ettaka ly’embuga z’amagombolola n’amasaza, ery’entobazzi n’ebibira.
3. Amayumba g’abaami, ennyumba y’omulamuzi, ennyumba y’omuwanika, Butikkiro, ennyumba ya Muteesa House e London ng’eno Gavumenti y’egipangisa kyokka tesasula.
Abaasooka okuteesa ku Byaffe
1. Polof. Apolo Nsibambi eyali Ssentebe
2. John Katende, omuwi w’amagezi
3. Godfrey Lule, omumyuka w’omuwi w’amagezi
4. Omulangira D an Kajumba
5. Besweri Mulondo, Ssaabalangira
6. Sam Ssabagereka
7. Omutaka Namuguzi ow’Ekika ky’Empologoma
8. Omutaka Kayita Musoke ow’Ekika ky’Envubu
9. Ndugwa Grace Ssemakula
10. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere
11. Joyce Nabbosa Ssebugwawo
OLUDDA LWA GAVUMENTI;
1. Maj Gen. Elly Tumwine
2. Maj. Gen Mugisha Muntu, eyali aduumira amagye
3. Lt. Col Jeje Odongo
4. Lt. Col. Sserwanga Lwanga (yafa mu 1996)
5. Lt Ben Wacha
6. Dr. B. Mbonye
Omusasi wa e ROGERS KIBIRIGE alaze olutalo lw’Ebya e na lwaki bingi bikyalemeddeyo.
BAALI abasajja basatu abaasooka okusisinkana Pulezidenti Museveni ku nsonga y’okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda obwali buwereddwa gavumenti ya Obote mu Ssemateeka wa 1967.
Kuno kuliko Omutaka Nadduli Kibaale, Ndugwa Grace Ssemakula ne Guster Nsubuga.
Mu 1987, Abataka abaakulemberwamu Ndugwa Grace Ssemakula baasisinka Pulezidenti Museveni e Ntebe ne bamusaba okuzzaawo Obwakabaka.
Olw’okuba ekigambo ‘Kabaka’ kyali kyafuulibwa kya byabufuzi, baasala amagezi ne bakozesa erinnya lya Ssaabataka. Pulezidenti bwe yabuuza omulimu gwa Ssaabataka ne bamutegeeza nti y’akulira Abataka b’Ebika n’okumala emikolo gy’ebyobuwangwa gyonna mu Buganda.
Munnamateeka John Katende ye yabaga ekiwandiiko ekyasomebwa mu maaso ga Pulezidenti.
Ndugwa Ssemakula agamba nti ensonga za Ssaabataka zeeyongeramu ebbugumu, olupapula lw’amawulire olwa Ngabo bwe lwafulumya amawulire agaalaga nti Abataka baali basazeewo obutagenda mu maaso na kukolagana na Gavumenti singa ebintu bya Ssaabataka tebimuddizibwa.
Eyali Ssentebe w’Abataka mu kiseera kino, Omutaka Nadduli Kibaale agamba:
Oluvannyuma lw’akakiiko k’amagye okutuula nga July 06, 1992 Pulezidenti yawandiikira Kabaka ng’alaga nti asazeewo okukolagana n’Abataka ku bintu bya Ssaabataka kuba baali beesimbu nnyo okusinga abantu abalala be yali agezezzaako okukolagana nabo.
Nayitibwa okwetaba mu lukiiko lw’amagye olwatuula e Gulu era oluvannyuma naweebwa ekiwandiiko ekizza ebintu bya Ssaabataka okwali Bulange, Butikkiro, Olubiri, ettaka lya Nnaalinnya ne Namasole, ettaka ly’Amasiro, ennyanja ya Kabaka, enju y’omulamuzi n’ey’omukulu w’ekibuga n’ettaka erya mayiro 350 kyokka nga Buganda teyali yaakubikozesa okumala ebbanga eggere kuba byalimu magye.
Kabaka yalondawo akakiiko ka bantu abaali ku ludda lwa Buganda nga bateeseganya n’abaali ku ludda lwa Gavumenti.
Oluvannyuma lwa Kabaka okubalonda baatwalibwa ku Palamenti ne balayizibwa okukuuma ebyama era nga tebaalina kubuulirako muntu yenna wadde bakadde baabwe oba abaagalwa baabwe.
Agamba: Tekyatubeerera kyangu okuteesa n’abaamagye kuba bo bajjiranga mu yunifoomu z’amagye ate nga tebaseka!
Twateeseza omwezi mulamba kyokka ne tulemererwa kuba Gavumenti yali ekkiriza okutuddiza Olubiri kyokka ng’etutaddeko akakwakkulizo ka kutandika kulukozesa oluvannyuma lw’emyaka 20 ate Bulange yo twali baakutandika kugikozesa oluvannyuma lw’emyaka 14.
MEEYA w’e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo agamba nti ffe abaali ku ludda lwa Buganda twali twagala ebintu bino bituddire bunnambiro tusobole okuteekateeka okutuuza Ssaabataka era nga waaliwo emikolo egyali giteekeddwa okukolebwamu.
Bulange eyaddizibwa Buganda.
Mu kiseera kino Abaganda baatuli bubi nnyo nga baagala okumanya we twali tutuuse n’enteeseganya. Nga tuyita mu ssentebe waffe Polof. Apolo Nsibambi twasaba okulambula ebintu ebyali byogerwako okulaba n’embeera gye byalimu.Gavumenti yaleeta bbaasi eyatutwala okulambula ebintu bya Ssaabataka, bwe twatuuka ku Bulange twasanga nsiko ate ng’ebizimbe byafaafaagana dda, abaamagye abaali mu kifo kino baasasamala era wano Dr. B Mbonye n’abaamagye abamu ne batutegeeza nga ebifo bino bwe byalimu ebintu ebyasulanga nga bikaaba!
Ndugwa Ssemakula ajjukira: Bwe twatuuka mu Bulange ne tweyala ku kituuti awabeera Nnamulondo ne tulambaala, abaamagye ne beewuunya.
Twaggyayo obutambaala ne tukaaba olw’embeera ebifo bino gye byalimu ate bwe twagenda ku kisenge awali emiziro gy’Ebika buli omu n’akwata awaali ogugwe wabula bannaffe abaali tebasobola kukwata ku gyabwe ne tubasitula.
Wano twavaawo ne tudda ku Twekobe nayo eyatukaabya amaziga olw’embeera gye yalimu.
Wadde ng’okuteesa kwali kwakuddamu enkeera, twafuna obuvumu ne tusaba okutukkiriza okuteesa ku lunaku lwe twalambula, twagenda mu Palamenti kyokka ne tutakkaanya ku kya myaka.
Essaawa y’ebyokulya n’okunywa bwe yatuuka abamu ne tuzira, abaali ku ludda lwa Gavumenti bwe baatubuuza ekyali kitutuseeko Nabbosa Ssebugwawo n’abaddamu nti mu Buganda bwe tufiirwa tetulya n’abamu ku bannaffe abaali bakutte ebyokulya ne babissa wansi!
Muky. Ssebuggwawo agamba: Nawandiika akapapula ne nkaweereza Polof. Nsibambi nga mmusaba ategeeze aba Gavumenti nti oba eky’emyaka kigaanye enteeseganya tuziveemu. Nalaba abaamagye bakiremeddeko ne nkwata fayiro yange ne nfuluma.
MUKY. Ssebuggwawo agamba nti nga bamaze okuzira enteeseganya mu Palamenti, era ne banne ne bafuluma, waayita olunaku lumu ne baddamu okuteesa, ku luno nga eyali Katikkiro Kintu Musoke y’ali ku ludda lwa Gavumenti.
Gavumenti yakkiriza okuzza ebintu bya Buganda mbagirawo enteeseganya ne ziggwa.
Omutaka Ndugwa: Mu kiseera kino kyali kyetaagisa okusooka okukyusa Ssemateeka wa 1967 eyaggyawo Obwakabaka.
Gavumenti yalonda Ssaabawolereza waayo Abu Mayanja ne Buganda n’eronda munnamateeka John Katende, bombi baatuula ne batema empenda ez’okuteekateeka amatikkira ga Ssaabataka aga 1993.
Oluvannyuma lw’Amatikkira ga Kabaka, abakungu abaalondebwa omuli Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere; Ssaabalangira Besweri Mulondo; Omutaka Ndugwa; Polof. Apolo Nsibambi (eyalondebwa okuba minisita wa Ssemateeka e Mmengo); Rev. Dan Kajumba; John Katende; A.D Lubowa; Sheik Ali Kulumba beegatta ku kakiiko ka Nsibambi akaali kateesa ku Byaffe okwongera mu maaso n’enteeseganya ne Gavumenti okuzza ebintu bya Buganda.
Ab’e Mmengo lwe baazira emmere mu nteeseganya z’Ebyaffe
MUKY. Ssebuggwawo agamba: BULI Kika ne kironda omubaka omu era ng’Ebika byavaamu ababaka 52 okukiika mu Lukiiko lwa babaka 86.
Eyali mu gavumenti ya Kabaka eyasooka, Guster Nsubuga agamba: Nze, Ssaabalangira Besweri Mulondo, omugenzi Polof. Ssenteza Kajubi, John Kawanga n’omugenzi Wasswa twasaba eyali omumyuka wa Pulezidenti eyasooka, Dr. Samson Kisekka okutwanjula ewa Pulezidenti ku nsonga za Federo.
Bwe twamusisinkana yatusaba okubaga ekiwandiiko ekirambika obukulembeze gye buva wansi okutuukira ddala waggulu nga bwe guli ku LC ye ze yagamba nti ze yali ategeera obulungi.
Mu 1994, Gavumenti bwe yatandika okubaga Ssemateeka omuggya, Kabaka yalonda Ssaabalangira Besweri Mulondo okukulemberamu ababaka ba Buganda mu lukiiko lwa C.A okusobola okuzzaawo enfuga ya Federo.
Enfuga ya Federo Gavumenti yagisimbira ekkuuli wabula eyali sipiika James Wapakhabulo n’awa Pulezidenti amagezi okusisinkana Kabaka okutaasa eggwanga obutatabuka lwa Federo.
Museveni yasisinkana Kabaka e Masaka ne bakkaanya okulondawo akakiiko akanaateesa ku nfuga ya Federo.
Mu CA, Ssaabalangira Besweri Mulondo ne babaka banne abaakiikirira Buganda baali batumiddwaayo Federo.
Kyokka Ssaabalangira yalya mu banne olukwe n’akola okusalawo okukwe n’asituka n’ategeeza nti, “
Ensonga za Federo zifuuse nga Ssemusota guli mu ntamu....! Kati abasaba Federo mulimu n’abeebibiina (UPC) okuli n’ekyaggyawo Obwakabaka noolwekyo okutuwa Federo ng’ereeteddwa bantu b’engulu aleseeyo asinga!”
Guster Nsubuga ng’anyumya ku lutalo lw’Ebya ffe.
Mu myaka gya 2000, Pulezidenti yaddamu okusisinkana abakungu ba Buganda n’aleeta kiremya! Enteeseganya zaali mu maka ga Pulezidenti e Nakasero n’ateesa nti ayagala Buganda ebeere n’enkiiko bbiri okuli olw’ebyobufuzi n’olw’Abataka olulina okuba olw’ebyobuwangwa era nga luno yali aluteereddewo obuwumbi bw’ensimbi bubiri.Yategeeza nti Katikkiro alina kulondebwa ng’ayita mu kalulu ekintu Mmengo kye yagaana.
Enteeseganya zaasasika okutuusa Pulezidenti lwe yasisinkana Kabaka ne ziddamu. Mmengo yakiikirirwa Katikkiro Ssemwogerere, John Katende, Peter Mayiga, Apollo Makubuya ate Gavumenti n’ekiikirirwa Amama Mbabazi, Mbiire ne Khidu Makubuya.
Buganda by’ebanja
1. Enfuga ya Federo. Muno mulimu okuba n’obuyinza okwesalirawo, okukung’aanya emisolo, eddembe ly’okutambula kwa Kabaka.
2. Mayiro z’ettaka 9,000, ettaka ly’enjazi, ettaka ly’embuga z’amagombolola n’amasaza, ery’entobazzi n’ebibira.
3. Amayumba g’abaami, ennyumba y’omulamuzi, ennyumba y’omuwanika, Butikkiro, ennyumba ya Muteesa House e London ng’eno Gavumenti y’egipangisa kyokka tesasula.
Abaasooka okuteesa ku Byaffe
1. Polof. Apolo Nsibambi eyali Ssentebe
2. John Katende, omuwi w’amagezi
3. Godfrey Lule, omumyuka w’omuwi w’amagezi
4. Omulangira D an Kajumba
5. Besweri Mulondo, Ssaabalangira
6. Sam Ssabagereka
7. Omutaka Namuguzi ow’Ekika ky’Empologoma
8. Omutaka Kayita Musoke ow’Ekika ky’Envubu
9. Ndugwa Grace Ssemakula
10. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere
11. Joyce Nabbosa Ssebugwawo
OLUDDA LWA GAVUMENTI;
1. Maj Gen. Elly Tumwine
2. Maj. Gen Mugisha Muntu, eyali aduumira amagye
3. Lt. Col Jeje Odongo
4. Lt. Col. Sserwanga Lwanga (yafa mu 1996)
5. Lt Ben Wacha
6. Dr. B. Mbonye
Osemba Ssaabalamuzi Okusigala Ku Ntebe Wadde Ng'ekisanja Kye Kyaggwaaako?
Ye
Nedda
Simanyi
Facebook
Twitter
Also In This Section
No comments:
Post a Comment