Tuesday 19 August 2014

IT IS SO SAD THE DEATH OF RETIRED BISHOP MISUSERA BUGIMBI WHO REJECTED MUSEVENI'S CAR DONATION

The departed Bishop served as founding Prelate for Luweero Diocese from 1991-1996 when the diocese was curved out of Namirembe. Prior to the appointment, he had served as the dean and later as the Suffragan bishop in charge of Luweero. A suffragan bishop is the authority assigned to an area which does not have a cathedral of its own.

Bp. Bugimbi to be buried at Luwero Cathedral

bishop's hat
Bishop Misusera Bugimbi will be buried on Monday afternoon at Luwero Diocesan Cathedral, the church officials here have confirmed.
Bugimbi passed on from Mengo Hospital on Wednesday afternoon and according to medical details from the hospital, the God’s servant died of throat cancer.
“He had throat cancer coupled with a very perturbing blood pressure”, one of the hospital staff told our reporter from the hospital this Thursday morning. Inside Report has however learnt that the bishop’s body still lies in Mengo mortuary till Sunday when it will be moved to Luwero.
In Luwero Diocese, preparations for the burial have started according to our reporter who travelled there this morning.
Clergy praises dead Bishop
Both the clergy and the Christians caught up at the Cathedral within Luwero town, gave touching testimonies in praise of the deceased Bishop.
“As a pioneer bishop he did a lot to lay the foundation of this diocese and he had since his retirement remained a key advisor to the diocese. Yes, he had aged but was of much importance to our diocese” said Canon Edward Nsamba Bukenya.
Nsamba who is also the proprietor of Wobulenzi Day and Boarding Parents School in Wobulenzi further described the deceased as having been a no-nonsense man who would not tolerate acts of laziness, corruption and rumour mongering among his clergy.
Canon Eldad Nsubuga said Bugimbi’ s body will be taken to Luweero Cathedral on Sunday for a night there before the God’s man is laid to rest on Monday afternoon.

ss

Information and National Guidance Minister Hon. Rose Namayanja Nsereko

August 22, 2014

Information and National Guidance Minister Hon. Rose Namayanja Nsereko said the Bishop offered all he could at a time of starting Luwero Anglican Diocese. “I can recall that he sometimes walked on foot to carry the God’s messages to the laity” said Namayanja who is also the Woman MP representing Nakaseke district.
Namayanja added, “He has been a man of action and a good time manager”.  The Minister further said the Diocese will always live to celebrate the meaningful life the dead bishop lived.
Bugimbi, the pioneer bishop of Luwero diocese succumbed to throat cancer from Mengo Hospital on Wednesday afternoon and here at Inside Report we were the first to break the sad news to the rest of the world.
Works and Transport Minister, also Katikamu North MP, Eng. Abraham Byandaala said the deceased laid a good foundation on which Luwero diocese has survived to date. Byandaala also eachoed Namayanja’s statement on time management by Bugimbi .
“His church services were always on time, no matter how many Christians were in the church, Bugimbi would still commence the service” Byandaala added.
When we reached Security Minister, Muruli Mukasa [Nakasongola] , he described the Bishop as having been a totally dedicated servant of God. “ He helped so much in fighting evil beliefs in our areas [Buruuli] and many people at that time had their shrines set ablaze after  accepting Jesus Christ” Minister Muruli Mukasa said.
Outspoken Luweero district chairperson Hajji Abdul Nadduli said Bugimbi supported all government programmes in the district. “I don’t know much about his side as a bishop but he was a great partner in the implementation of government projects”, remarked Nadduli.
Bugimbi will be laid to rest at Luweero Cathedral on Monday. His body still lies at Mengo hospital where it will be transferred to Luwero on Sunday.

Luweero Diocese mourns death of pioneer bishop

By Dan Wandera

Posted  Thursday, August 21  2014 at  01:00

Luweero.
The news about the sudden death of Luweero Diocese pioneer bishop, Misusera Bugimbi, has sent shock waves among Christians.
Many describe him as the person who kept his promise and opposed all voices of intimidation at a time Luweero had just embarked on the war recovery process.
Mr Absolom Bwanika Baale, the FDC Luweero party chairman, says the late Bugimbi pioneered the rebuilding of churches for Luweero Diocese which had just been curved out of Namirembe.
“I remember at the time of his consecration he rejected a vehicle donated by President Museveni, saying such a vehicle could not enable him do his work as a Bishop in an area which a poor road network and just recovering from the ruins of the liberation war struggle,” Mr Baale told Daily Monitor yesterday.
Starting projects
Bishop Bugimbi championed several church projects. The most notable ones include the renovation and extension of St Mark Cathedral, training several clergy and starting a vocational school for the blind among others.
“We also remember him for bringing Busoga Trust, an NGO which constructed water sources for our people. These were not normal times for Luweero which was just recovering from war,” Mr Baale said.
Can Edward Nsamba Bukenya, a leading educationist and director of Wobulenzi Parents School, says Bishop Bugimbi was bold in whatever programmes he undertook as a Bishop of Luweero Diocese.
“Luweero was just recovering from war when we were granted a Diocese status. This called for hard work, endurance considering the many challenges which the Bishop with the help of the Christians undertook. The five years he was our Bishop were fruitful years,” Can Nsamba said.
According to family sources, Bishop Bugimbi succumbed to cancer of the throat, High blood pressure and Kidney complications at his home in Kabusu, Rubaga Division in Kampala in the early morning hours of Wednesday.
who is Bugimbi?
Bishop Bugimbi was consecrated as Bishop of Luweero Diocese in 1991 and served up to 1996 when he retired. He first served as a Dean at Namirembe Diocese before his consecration. He is also remembered by Christians as one who championed the establishment of Luweero Diocese Guest House, which project has been fulfilled by the current Bishop Evan Mukasa Kisseka.
He built the current offices of the Diocese at Luweero Town Council, purchased land for the Church at Kasiiso where the Church established a Vocational school among other church projects.
editorial@ug.nationmedia.com 

Bp. Misusera Bugimbi: Yakomyawo Bannaluweero abaali badduse olutalo
 
Luweero | Aug 23, 2014
 
Bp. Bugimbi lwe yali ku kkanisa e Kitebi - Wankulukuku nga August 10, 2003 mu kussaako emikono.
Bya FREDERICK KIWANUKA NE SAMUEL KANYIKE 
  • Kuva buto nga tayagala bayisa budde
  • Yagaana emmotoka ya Gavumenti ey’ebbeeyi
KU lunaku olwali Olwomukaaga nga June 30, 2007, Omulabirizi wa Luweero eyawummula, Bp. Misusera Bugimbi yasattiza ab’e Ndejje bwe yeekandagga n’ava ku mukolo Ndejje University kwe yali emuyise ng’omugenyi omukulu ku bikujjuko byayo eby’okuweza emyaka 15. 
Omulabirizi Bugimbi yali awakanya okumukandaaliriza olw’aboogezi ab’enjawulo abadda mu lulondakambe ne bayisa mu budde mwe yandyogeredde ku mukolo guno. Kino kyatuuyanya Mulabirizi munne eyawummula, Michael Sennyimba (mu kiseera ekyo eyali amyuka Cansala wa Ndejje University) wabula oluvannyuma baamuwooyawooya n’adda ku mukolo n’awa okwogera kwe mwe yeekokkolera abantu abayisa obudde we kiteetaagisiriza!
Ono ye Misusera Bugimbi (kati omugenzi) mu 1991 eyasooka okulya Obulabirizi bwa Luweero (obutwala disitulikiti kati essatu; Luweero, Nakasongola ne Nakaseke)nga we yafiiridde ku Lwokubiri ng’aweza emyaka 84.
Abadde munnaddiini emmekete atanyigirwa mu ttooke era anywerera ku ky’ategeeza, omukozi ate ayanguyira  abantu n’okubagatta.
Bugimbi, eyafiiridde mu maka ge e Kabuusu oluvannyuma  lw’okumala akaseera ng’atawaanyizibwa kookolo, puleesa n’ensigo, ye Mulabirizi wa Luweero eyasookera ddala ng’Obulabirizi obwo butondebwawo mu 1991.Yawummula mu 1996 oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65, Abalabirizi kwe bawummulira.
Atabaganya ab’e Ndejje n’e Luweero
Nga tannagenda Luweero, yasooka kukola nga Ddiini w’Obulabirizi bw’e Namirembe, mu kiseera ekyo obwali butwaliramu ne Luweero. We yagendera e Luweero, yasanga Abakristaayo beetemyemu ng’ab’e Ndejje baagala we waba wabeera ekitebe ky’Obulabirizi sso nga n’ab’e Luweero baali bakyagala waabwe.
Ng’ali wamu n’omugenzi Omulabirizi Misaeri Kawuma ow’e Namirembe, bazza abakristayo b’e Ndejje, abaali banyiize era enteekateeka zaakolebwa ne babawa yunivaasite, olwo nabo ne bamatira.
Can. Kezekia Kalule, Ssaabadiikoni w’e Luteete mu Bamunaanika, agamba nti tekyali kyangu okumatiza ab’e Ndejje abaali bamaze n’okuzimba ‘lutikko’.
Bye yakola mu Luweero
Ng’atudde mu ntebe y’Obulabirizi,  Bugimbi yalaga obukozi bwe yagaziya lutikko ya St. Mark n’agyongerako  amadirisa ataano (5) olwo lutikko eyali akasirikitu n’eba ng’esobola okutuuza abantu abawerako. Munne eyamusikira (Bp. Evans Kisekka) naye yagyongera okugigaziya.
Nnamwandu Margaret Bugimbi.
Teyakoma awo, yatandika ogw’okuzimba ofiisi z’Obulabirizi ne ‘Guest House’ nabyo Bp. Kisekka bye yayongerezaako.
Yajja n’omulamwa ogugamba, ‘Yesu Kristo gwe musingi kwe tuba tuzimbira’, gwe yasimbula mu (1 Bakolinso 3:11-13).
Can. Edward  Nsamba Bukenya agamba nti Bugimbi, eyatuuzibwa nga December 8, 1991, yasanga okusoomoozebwa kwa maanyi olw’ekitundu kino ekyali kyakava mu lutalo nga buli kimu kitaaguddwa n’abantu omuli ab’omugaso okuttibwa. Yasaba Bannaluweero abaali badduse olutalo nga bawahhangukidde awalala okukomawo bazimbe ekitundu.
Yasookera ku kuzimba na kuddaabiriza makanisa agaali gataaguddwa n’okukubwa mu lutalo kuba agasinga gaali nkambi za magye amalala, omuli ne lutikko ya Luweero bwali bubudamo eri ababundabunda, n’eyonoonebwa nnyo. Yagigaziya n’assaako ekifo abaweereza we bambalira, okuzimba enju z’abaweereza n’okutondawo Obusumba obuggya, okukubiriza abantu okukola ennyo balime n’emmere okulwanyisa obwavu okutandikawo ettendekero ly’emikono okuyamba bamulekwa abaasubwa okusoma olw’olutalo ne bannamwandu, okutandikawo amalwaliro n’okulondoola ettaka ly’ekkanisa. Y’omu ku baawoma omutwe mu kutandikawo Ndejje Day Vocational S.S okuyamba abaana b’omu kitundu bamufunampola.
Yakubiriza abantu okwekuuma siriimu ng’abafumbo babeera abeesigwa ate abatannafumbirwa okwewala eby’okwegadanga. Yakyalira amasomero ng’akubiriza abasomesa n’abaana okusaba naddala ku Ssande n’okuzza obulamu mu kusaba okuyita mu nnyimba ezigenderako ebivuga by’ekinnansi.
Wadde abadde yawummula Obulabirizi, abadde akyabunyisa enjiri okutuusa lw’agonze. Okusinziira ku nnamwandu Margaret, Bugimbi abadde amaze akaseera nga tayogera olwa puleesa, kookolo w’omumiro n’ensigo, ebimaze akaseera nga bimutawaanya.
Abadde teyeejalabya
Abaddenga ayogera lwatu ku biruma abantu n’okulaga endowooza ye awatali kwekomomma.
Olumu Gavumenti bwe yamuwa emmotoka ey’ebbeeyi ekika kya Daewoo, ng’akyali Mulabirizi, yeewuunyisa Abakristaayo bwe yayimirira ku magulu ge n’agigaana  ng’agamba nti yali tesaanye wadde yali ya buwa!
Misusera bugimbi y’ani?
  • Yazaalibwa 1930 n’asomera mu masomero ag’enjawuo omuli; Bussi, Jungo P/S, Mityana SS, Aggrey Memorial School ne Namutamba TTC.
  • Yatandika okusomesa mu 1955 e Ngogwe n’adda e Buddo, Bukomero, Kitebi, Namutamba n’akulirako ettendekero ly’abasomesa e Buloba n’awummula obusomesa mu 1973.
  • Yabeerako principal wa Buloba TTC.
  • Yatendekebwa mu Bishop Turker Theological College e Mukono mu 1974 n’afuulibwa Omudinkoni mu mwaka gwe gumu nga Ssaabalabirizi Janan Luwum ye yamuwa obukulu buno. 
  • Mu 1975, yafuulibwa Omwawule n’atumibwa e Nairobi ng’eno gye yafunira ne ddiguli eyookubiri mu byeddiini era n’akulirako ekitongole ekibuulizi ky’enjiri ekya Life Ministry mu Nairobi. 
  • Eno gye yava n’afuulibwa omumyuka wa Vvikka mu kkanisa ya All Saints e Nakasero ku kitebe ky’Ekkanisa ya Uganda.
  • Mu 1985, yafuulibwa Ddiini wa lutikko e Namirembe okutuusa May 6, 1990 lwe yalondebwa ku Bulabirizi bwa Luweero.
  • Mu 2001, yafiirwa mukyala we eyasooka, Victoria n’aziikibwa ku lutikko e Luweero (era naye w’agenda okuziikibwa).
  • Mu 2002, ng’aweza emyaka 72, yawasa omukazi omulala, Margaret.
BAAKUMUZIIKA N’OBUKADDE 22
Bp. Kisekka, bannaddiini n’Abakrisitaayo bateekateeka okuziika Bugimbi ku Mmande ku lutikko y’Obulabirizi e Luweero.
Omulambo ogukyali e Kabuusu gwakutuusibwa mu lutikko e Luweero ku Ssande ku ssaawa 10:00 gusule mu kkanisa wakati mu kusaba. Enkeera ku Mmande waakubaawo okusaba ku ssaawa 5:00 oluvannyuma aziikibwe ng’enteekateeka yonna ya kumalawo obukadde 22.
 
1 comment:

  1. Other Bishops have good lessons to learn from Retired Late Bishop Bugimbi. May the good Lord reward him abundantly.

    ReplyDelete