Monday 25 August 2014

THE GOVERNMENT OF UGANDA HAS TO BE CAREFUL WITH ABDALLA KITATA



It is Kitatta lifted high

At the time when Kampala Capital City Authority (KCCA) wanted the Commercial Motorcyclists (boda boda) operating in Kampala City counted, there came a man by the name Abdalla Kitata the Chief of Boda Boda 2010.  This fellow was able to stand in the way and the counting had to be re – scheduled.  Kitata has been heard on a number of Radio stations claiming how he has direct touch with President Museveni, and this is the source of the problems.  Kitata alleges to have been able to get motor cycles directly from the President for the benefit of the commercial motorcyclists.  While some people may think all is well within the boda boda operators, the talk show on Monday evening on Radio Kaboozi – 87.9FM at 8.00pm brought out clearly that not all is well with Kitata even among the boda boda operators.  They allege that Kitata is able to abuse their rights and he is proud about it!

The Monday strike by the Taxi operators has had one of the engineers as Kitata.  While some people may be happy with Kitata, they have to be ready for the outcome of his operations.  While the strike was on, some taxi’s were damaged and it is alleged that the scheming had been by Kitata himself to have all the taxi operators observe the strike.  It is true that the situation in Uganda is very challenging to a number of people, and when Kitata is left to do what he wishes, those in authority should be ready for the consequences.  We are aware that KCCA has plans to re – locate the boda boda operators.  We are also aware that President Museveni wants KCCA to see that the status of Kampala is lifted to cope with other cities.  In this respect, if the security personnel don’t put a limit to what Kitata can do through his mobilization, the worst is yet to be seen in Kampala.   



Kitatta y’ani akekemya Bannakampala okuva mu butale okutuuka mu ba bodaboda?
 
Kampala | Sep 25, 2013
 
Abdallah Kitatta

Abdallah Kitatta yakoma mu S3, naye wadde teyasoma nnyo ajojobezza Kampala n’atwaliramu abayivu bangi n’abamusinza ssente.
Kalondoozi wa Bukedde alaze wa amaanyi ga Kitatta gy’agaggya atuuke okucankalanya abavubuka mu Kampala, obutale n’aba bodaboda.
EKITONGOLE kya KCCA kikyagulumba n’ebyokuwandisa bodaboda mu Kampala nga Kitatta y’akulembezze abeekiise mu kaweefube ono!
Okumanya Kitatta aleppusizza KCCA, omulimu gw’okuwandiisa bodaboda, KCCA gw’emaze kumpi omwaka mulamba ng’egwetegekera, ogwalina okutandika nga September 9, gwakongezebwayo emirundi ebiri!
Ogwasooka KCCA yapondooka n’ekyusa eby’okuziwandiisa okuva ku September 9 n’ekuzza ku September 23 kyokka nalwo yalukyusizza n’erangirira nti kati bodaboda zaakuwandisibwa okuva nga October 10.
Mu Kampala mubalirirwa okubaamu bodaboda 300,000 omuli ezisimba ku siteegi ez’enjawulo mu magombolola gonna gattako ne bodaboda ezitalina bifo we zisimba nga zino ze zisinga obungi.
Kitatta ku mbaga ye.
BODABODA BEETEMYEMU
KCCA yakoze enteekateeka okuwandiisa bodaboda zonna okusobola okulung’amya omulimu gwazo ng’etegedde obungi bwazo, abazivuga, okutongoza siteegi zaazo, okusomesa aba bodaboda amateeka g’ebidduka wamu n’okubasasuza omusolo.
Wabula aba bodaboda beetemyemu, abamu bawagira KCCA okubawandiisa nga bagamba nti kigenda kuyamba okugogola omulimu gwabwe okuggyamu abantu abakyamu omuli ababbi, bambega n’abafere.
Ekibiina kya National Federation of Professional Cyclists Network (NFPC) ekigatta obubiina 56 obw’aba bodaboda obusangibwa mu magombolola ga Kampala bali wamu ne KCCA era ssentebe waabwe John Semujju agamba nti aba bodaboda bonna mu Kampala baagala okubawandiisa.
Kitatta nga ye muyima w’ekibiina kya Bodaboda 2010 Association of Uganda Limited yeesimbye mu nteekateeka z’okuwandiisa bodaboda ng’ayambibwa n’abanene mu Poliisi.
Agamba nti ekibiina kye ekya Bodaboda 2010 omulimu gw’okuwandisa aba bodaboda kyagukola dda, KCCA yeetaaga kukolagana nabo.
Kitatta nga yeekaaliisa ne bakanyama be mu Kampala.
KITATTA Y’ANI?
Kitatta 31 agamba nti yazaalibwa mu 1982 ku kyalo Kisanjufu e Nakasajja mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono. Bazadde be ye Muhamood Ssonko ne Hasifa Nabukeera.
Okusoma teyakutwala wala nnyo, yasooka kusomera mu Kalagala Quran School e Kalagala gye yava n’adda e Kitegombwa C/U gye yatuulira P7. Ng’amaze P.7, yeegatta ku Namasumbi S.S. kyokka n’awandukira mu S.3 ng’emisomo gimuzannya nnyo naddala Olungereza, Ssaayansi n’okubala.
“Ssaalina magezi mu kibiina kyokka Katonda nga bw’atamma byonna, yampa amagezi amazaale era ge gasobodde okuntuusa wano”, Kitatta bwe yategeeza Bukedde gye buvuddeko.
Bwe yali akyali mu ssomero, ekintu kye yali akuba obudinda byali byaddiini, amasomo amalala gaali gamugoya bwenvu.
Wabula Kitatta agamba nti bw’agenze akula yeesanze ng’obutasoma bumufiirizza ebintu bingi era yasalawo okuddayo mu ssomero omwaka oguwedde asobole okufuna ebbaluwa eya S.4.
Kitatta yasookera mu kwetikka migugu na n’amatooke.
Ng’ebyokusoma bigaanyi, yayingira ekibuga, amakanda n’agakuba mu Ndeeba. Olw’okubanga teyalina butendeke bwonna nga ne ssente ezitandika bizinensi talina, Kitatta yamanya nti kapito gwe yalina ky’ekiwago kye kubanga wadde yali mulenzi mumpi, naye yalina emifumbi.
Kitatta nga basajja be bamusitudde gye buvuddeko.
Yasookera mu kutikkula n’okwetikka amatooke n’ensawo z’emmere era yazeetikka n’omugongo ne gumusiiwa!
Abamanyi Kitatta bagamba nti yali mulenzi mujagujagu era nga mwangu nnyo naddala ku nsonga za ssente, nga bw’okola ddiiru n’osumagiramu katono ng’owedde!
Waliwo abanene abawaga Kitatta okuvuluga Kampala?
OMULIMU gw’okwetikka emmere, Kitatta yagukolera akabanga ng’obusente bw’afuna abusiba ku luwuzi okutuuka lwe yaweza entandikwa n’atandika okusuubula ensawo z’amatooke okulenga emyera. Wabula amagoba ku myera gaali ga buswazzi, era ebbanga lye yamala ng’alenga emyera, Kitatta agamba nti teyafunamu.
Eby’emyera nga bigaanyi, Kitatta yayingira mu Kisenyi n’atandika okwetikka ensawo z’obuwunga era omulimu guno yagukola okumala emyaka etaano okutuusa lwe yakung’aanya obukadde busatu.
Zino ze yakozesa okutandikawo edduuka eritunda obuwunga, ebijanjaalo n’emmere enkalu mu Kisenyi n’e Katwe.
KITATTA AYINGIRA MU BYOBUFUZI
Abamanyi Kitatta bagamba nti mu kubaza ebintu tewali amusinga era ne bwe yali akyetikka obuwunga yali anyumirwa nnyo ebyobufuzi nga bimusingira embaga etenyumye!
Mu mbeera eno, Kitatta mwe yeesoggera ebyobufuzi bwe yeesimbawo mu kulonda kwa NRM mu 2010 n’alondebwa ku bwassentebe w’Abavubuka wakati mu mivuyo n’okulwagana n’ab’ekiwayi kye yali avuganya.
Kitatta n’abaana be.
Ekifo ky’obwassentebe w’abavubuka mu Lubaga, Kitatta yakyeyambisa okumanyika mu banene mu NRM naddala ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road, Poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe be yamatiza nti asobola okwang’anga aba FDC, DP n’ebibiina ebirala mu Kampala.
Mu March wa 2011, waaliwo okulonda kw’abakulembeze b’abavubuka mu Kampala era Kitatta y’omu ku baali beesimbyewo wabula abavubuka ne bamusimbira ekkuuli nga bagamba nti si muyigirize kimala.
Kitatta yakunga abavubuka b’e Lubaga n’e Nakawa ne bagezaako okutabulatabula okulonda wabula Polisi yabagumbulula , okulonda ne kugenda mu maaso Tony Buwande n’alondebwa ku bwassentebe ng’amyukibwa Mubarak Kalungi.
“Nneenyumiriza nnyo mu Brig, Elly Kayanja, ampabudde nnyo ne minisita Maria Mutagamba. Nze nkwanaganya emirimu gya NEMA mu Buganda era bano bandaga nti tososola muntu nga weesigama ku ddiini wadde eggwanga.
Olumu nnali nsula ku nnyumba z’omwami wa DP, Ibrahim Buwembo mu Kitaka zooni e Busega nga nnina akamotoka kange aka DX.
Eyali Meeya Ntege Sebaggala bwe yali akomawo okuva mu Amerika gye bamusibira ku bicupuli, Buwembo yansaba mmotoka okugenda e Ntebe okumwaniriza.
Bwe nnagaana yalaba siri waka, n’asiba ennyumba yange n’agobawo mukazi wange nange ne nsalawo okumuloopa mu LC ewa ssentebe omugenzi Lauben Kibazo.
Buwembo namutwala mu kkooti ne mmusinga era n’alwagirwa okuliwa obukadde 30 kyokka teyakikola. Yatunda ennyumba nadduka ku kitundu.
Kitatta mu nkoko ze gye buvuddeko.
KITATTA MU BODABODA
Akulira NFPC, John Semujju agamba nti Kitatta tabangako muvuzi wa bodaboda era yali tabibangamu okutuuka mu 2010, aba bodaboda bwe baafunamu obuzibu n’omuduumizi wa Poliisi, Gen Kale Kayihura nga bawakanya ebikwekweto bya Poliisi ku bodaboda omwali n’okusika bodaboda n’okuzikuba ebibaluwa.
Mu kiseera ekyo aba bodaboda baali beegattira mu kibiina ekya KUBOCA ekyawakanya ennyo ebikwekweto bya Poliisi era ekyava mu kino be bakulembeze b’ekibiina kino okutulugunyizibwa Poliisi n’abamu ne bakwatibwa.
Semujju agamba nti olw’okuba Kitatta yali amaze okumatiza Poliisi n’abamu ku ba NRM nti aba bodaboda abasinga mu Kampala ba Besigye, DP, n’ebibiina ebiwakanya Gavumenti, embeera eyaliwo wakati wa Poliisi ne KUBOCA baagyeyambisa okuwera ekibiina ne bassaawo ekibiina kya Bodaboda 2010 ne bategeka okulonda kw’aba bodaboda okw’ekimpatiira.
Wano Kitatta we yayingirira mu mulimu guno era ofiisi za Bodaboda 2010, Gen. Kayihura ye yaziggulawo e Nakulabye .
Kitata yatondawo ekibiina kya SACCO kye yayita ekya ba Bodaboda, Pulezidenti Museveni n’abawaayo obukadde 200
Mu mwaka gwe gumu 2010, Pulezidenti Museveni yawa Bodaboda 2010 obukadde 500 ez’okuyamba aba bodaboda okugulamu pikipiki era pulojekiti eno yakwanaganyizibwa omuyambi wa Pulezidenti Moses Byaruhanga.
Kyokka aba bodaboda ab’enjawulo mu Kampala bagamba nti ssente za SACCO obukadde 200 n’eza bodaboda obukadde 500 tebaaziganyulwamu era Kitatta baamuwawaabira omusango ku Poliisi n’ensonga ze zimu ziri mu Palamenti, Byaruhanga gye yayitibwa gye buvuddeko ababaka ne bamukunya olwa ssente ezo.
EMIVUYO MU BUTALE
Ng’oggyeeko emivuyo gya bodaboda, Kitatta ali wakati ne mu mivuyo egy’obutale obw’enjawulo mu Kampala .
Yasooka kwenyigira mu mivuyo gy’akatale k’e Nateete n’adda ne mu katale k’e Busega.
Mu February wa 2012, amasasi gaanyooka mu katale k’e Busega ng’ekibinja kya Kitatta kirumbye akatale okusiguukulula ssentebe w’abasuubuzi Hajjati Hasifa Ssenkungu mu ofiisi bateekemu owaabwe.
Kino kyaddirira abasuubuzi okumala wiiki bbiri nga beekalakaasa nga bagamba nti ssentebe waabwe abayisa bubi era abavubuka yabagoba mu katale n’ayingizaamu bannamwandu bokka.
Kitatta ng’ali n’abamu ku basuubuzi mu katale kano baasooka kutegeka kulonda kw’abakulembeze abapya ne kuwangulwa Ssaalongo Charles Bugembe, kyokka omubaka wa Gavumenti mu Kampala, Alice Muwanguzi n’akusazaamu ng’agamba nti tekwali mu mateeka wabula Kitatta n’amujeemera!
Kitatta kwe kuwa Gavumenti ennaku ssatu nga Ssenkungu avudde mu katale, Ssaalongo Bugembe asobole okukulembera era bwe kitaakolebwa n’alumba n’abavubuka be.
SSENTE Z’ABAVUBUKA
Kitatta ne banne baalumba Lubaga oluvannyuma lwa KCCA okuyimiriza ku kugaba ensimbi zino wasooke wabeewo enteekateeka ennung’amu essibwawo, kyokka Kitatta yabigaana ng’agamba nti Loodi Meeya Lukwago ne Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi baali bayingizza ebyobufuzi mu nsimbi z’abavubuka.
Poliisi yamala kuyitibwa okubagumbulula nga batandise okwonoona ebintu bya KCCA kyokka Kitatta teyakwatibwa.
Banywanyi ba Kitatta bagamba nti alina emmundu bbiri ennene na baasitoola era atambula n’abakuumi babiri mu mmotoka nga kigambibwa nti obukuumi bw’alina bwamuweebwa abanene mu bitongole ebikuumaddembe.
OBUGAGGA BWA KITATTA
Azimbye emizigo gy’abapangisa 30 e Busega mu Kitaka Zooni, alina ebiyumba by’enkoko e Kabojja mw’alundira enkoko ezisukka mu 2,000 ng’olunaku alonda ttule z’amagi ezisoba mu 30.
Alina amaka agatayisikamu maaso e Kabojja n’e Busega gattako n’amaduuka agatunda ebizimbisibwa e Nateete n’ e Nalukolongo.

 

1 comment:

  1. This comment has been removed by a blog administrator.

    ReplyDelete